OLUGENDO (#6253)

Ngolokose ku makya ga leero lwa kisa Kyo, Ayi Katonda wange, era nvudde mu maka gange nga neesigira ddala Ggwe, n’okweweerayo ddala eri obukuumi Bwo.  Noolwekyo, osse ku nze omukisa Gwo okuva mu Ggulu ly’okusaasira Kwo, omukisa okuva mu kifo Kyo, era onsobozese okuddayo eka mu mirembe nga Ggwe bwe wansobozesezza okuvaayo mu bukuumi Bwo nga ebirowoozo byange mbinywerezza ku Ggwe.  
	Teri Katonda mulala yenna wabula Ggwe, Omu wekka, Atageraageranyizibwa, Amanyi-Byonna, Owaamagezi-Gonna.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OLUGENDO (#6254)

Ayi Katonda, Katonda wange!  Nvudde mu maka gange, nga neekwatidde ddala ku lukoba lw’okwagala  Kwo, era neeweereddeyo ddala mu bulabirizi Bwo n’obukuumi Bwo.  Nkwegayiridde Ggwe ku lw’obuyinza Bwo Ggwe bw’okozesa okutaasa abaagalwa Bo eri abaabula n'aboonoonefu, era n’eri buli mukozi w’ebibi abulidde ddala okuva eri Ggwe, okunkuuma obulungi ku lw'obugabi Bwo n'ekisa Kyo.  Noolwekyo onsobozese okuddayo mu maka gange ku lw'amaanyi Go n'obuyinza Bwo.  Mu mazima, Ggwe Ayinza-Byonna, Omuyambi mu Kabi, Eyeemalirira.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

