OKWEREKEREZA (#6233)

Ayi Mukama!  Gy’oli kye kiddukiro kyange, era eri obubonero Bwo bwonna omutima gwange gye ngutadde.
Ayi Mukama! Ombeere mu lugendo, oba nga ndi waka, era nga ndi ku mulimu gwange, oba mu buweereza bwange, nteeke obwesige bwange bwonna mu Ggwe. 
Kale nno ompe obuyambi Bwo, obumala bwentyo nsobole okwerekereza ebintu ebirala byonna, Ayi Ggwe ategeraageranyizika olw’okusaasira Kwo!
Ongabire omugabo gwange, Ayi Mukama, nga Ggwe bw'oyagala, era  onnyambe mbeere mumativu mu buli kyonna ky’olagidde ku lwange.
Ggwe alina wekka obuyinza obwenkomeredde obw’okulagira.

-The Báb
-----------------------

OKWEREKEREZA (#6234)

onda wange, Mukama wange era Antwala!  Neerekerezza ab’eŋŋanda zange era ne nnoonya okwetongola okuva ku balala bonna abatuula ku nsi nga mpita mu Ggwe era nga bulijjo ndi mwetegefu okufuna ekyo ekitenderezebwa mu maaso Go.  Ompe ekirungi nga ekyo ekinanfuula eyeetongodde ku balala bonna okuggyako Ggwe, era ompe omugabo ogusingako obunene mu birabo byo ebitaliiko kkomo.  Ddaladdala, Ggwe Mukama oweekisa ekingi.

-The Báb
-----------------------

