OKUYIGIRIZA (#6282)

Erinnya Lyo litenderezebwe, Ayi Mukama Katonda wange!  Ggwe ondaba engeri amaaso gange gye geekaliriza okwagala kw’ekisa Kyo, era  n’engeri amaaso gange gye gakyukidde eri entikko y'ekisa Kyo, era n’ekisa ky'okwagala Kwo, era n’engeri emikono gyange gye gyegolodde eri eggulu ly’ebirabo Byo.  Obuyinza Bwo bumpaako obujulirwa!  Buli kitundu ku mubiri gwange kikukoowoola Ggwe nga kigamba nti, “Ayi Ggwe Oyo Omwagalwa-Ennyo ow’ensi zonna, era Mukama w’ebyo byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi, era Oyo omu Okwegomba kw'emitima egyeweereddeyo ddala eri Ggwe!  Nkwegayirira Ggwe, ku lwa Ssemayanja Wo kwe wakuŋŋaanyiriza abatuuze bonna ab’omu ggulu era n'abtuuze bonna ab’oku nsi, oyambe abaddu Bo ababadde balemesebwa okugikyukira era n'okusemberera embalama zaayo.  Nate era, Ayi Katonda wange, obawe Envinnyo esingira ddala ey’okusaasira Kwo, olwo ebasobozese okwerabira omulala yenna wabula Ggwe, era n’okugolokoka baweereze Enzikiriza Yo, era n’okunywerera mu kwagala kwabwe eri Ggwe.  Noolwekyo, Ayi Katonda wange, obayambe okwerekereza ebirala byonna okuggyako Ggwe, era obasobozese okwatulanga ettendo Lyo, n'okutendereza ebirungi Byo.   Ddaladdala, Ggwe Mukama w'obulamu bwabwe era Ekiruubirirwa ky’okusuuta kwabwe.  Singa olibagoba Ggwe, olwo ani alibatunulako; singa basuulibwa ewala okuva Ggwe w’Oli, ani aliwo ayinza okubayamba okusemberera Embuga Yo?  Ndayira ku lw'obuyinza Bwo!  Teri bubudamo obw’okuddukiramu okuggyako Ggwe, era teri buddukiro bwa kunoonya okuggyako obuddukiro Bwo, era teri bukuumi okuggyako obukuumi Bwo.  Zimusanze oyo akkiririza mu Mukama nga mulala wabula Ggwe, era baweereddwa omukisa abo abeggye ku batuuze bonna ab’oku nsi Yo, era ne beekwata ku ggemo ly'obugabirizi Bwo.  Be bano!  Be bantu ba Bahá, abali mu maaso g’abo bonna abali mu ggulu n’abo abali ku nsi.  Teri Katonda okuggyako Ggwe, Amanyi-byonna, Ategeera-byonna.   Ettendo libe eri Katonda, Mukama ow'ensi zonna.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OKUYIGIRIZA (#6284)

Ayi Katonda wange, oyambe Ggwe omuddu Wo okugulumiza Ekigambo, era n’okuwakanya eby’obutaliimu n’ebikyamu, okunyweza amazima, okubunyisa ennyiriri entukuvu wonna, okubikkula ebirungi, era n’okusobozesa ekitangaala eky’oku makya okulabikira mu mitima gy’abatuukirivu.
Ddaladdala, Ggwe Lugaba, Asonyiwa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OKUYIGIRIZA (#6283)

Ayi Katonda, Ayi Katonda!  Kino ky’ekinyonyi ekirina ekiwaawaatiro ekimenyese era n'okubuuka kwakyo kwa kasoobo nnyo – omuyambe bwatyo asobole okubuuka atuuke ku ntikko y'obuwanguzi n'obulokozi, abuukire mu ssanyu, n'okwesiima okungi ennyo wonna mu bbanga eritakoma, olangirire oluyimba lwe mu Linnya Lyo Essukkulumu mu bitundu byonna, ocamule amatu n’okukoowoola kuno, era otukuze amaaso nga gatunuulira obubonero obw’okuluŋŋamizibwa.  Ayi Mukama! Ndi bwa nnamunigina, obw’omu era omunaku.  Nze sirina mubeezi wabula Ggwe, sirina muyambi okuggyako Ggwe era sirina muwanirizi okuggyako Ggwe.
Onkakase mu buweereza Bwo, ombeere n'amagye ga bamalayika Bo, onfuule omuwanguzi mu kubunyisa Ekigambo Kyo, era onsobozese okwatula ebyamagezi Go wakati mu bitonde Byo.  Ddaladdala, Ggwe muyambi w'abanafu era alwanirira abaana abato, era ddaladdala Ggwe Owaamaanyi, Owoobuyinza era Atakugirwa!

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OKUYIGIRIZA (#6285)

Ayi Ggwe Katonda atageraageranyizibwa!  Ayi Ggwe Mukama w'Obwakabaka!   Abantu bano ly’eggye Lyo ettukuvu.  Obayambe era, nga bali wamu n’ebibinja by’Eggye ly’omu Ggulu, obafuule abawanguzi, bwebatyo buli omu ku bo asobole okufuuka nga ekibinja ky’eggye era awangule amawanga gano nga ayita mu kwagala kwa Katonda era n'okutangaazibwa kw'enjigiriza entukuvu.
Ayi Katonda!  Obeere omubeezi waabwe era omuyambi waabwe, era mu ddungu, ku lusozi, mu kikko, mu bibira, mu lukoola, ne mu nnyanja, obeere Ggwe omwesigwa waabwe –  bwebatyo basobole okulangirira Ekigambo Kyo nga bayita mu maanyi g'Obwakabaka n’empewo y'Omwoyo Omutukuvu. 

Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi, Owoobuyinza era Omuyinza-wa-byonna, era Owaamagezi, Awulira era Alaba.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OKUYIGIRIZA (#6286)

Ayi Katonda, Katonda wange!  Obabeere Ggwe abaddu Bo abeesigwa bafune emitima egyekisa.  Obayambe okubunyisa, mu mawanga gonna ag'ensi, ekitangaala ky'okuluŋŋamizibwa ekiva mu Ggye ery’omu Ggulu.  Ddaladdala, Ggwe Omugumu, Owoobuyinza, Owaamaanyi, Awangula-byonna, Omugabi-bulijjo.  Ddaladdala Ggwe Lugaba, Omuteefu, Omukkakkamu, Omugabi Asingira ddala.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

