OKUSONYIYIBWA (#6242)

*...Okwejusa ebibi n'ebyonono eri abantu, tekiki rizibwa... Omwonoonyi alina okuda eri Katonda we, olwo n'awanjagira ekisa, ky'Oyo, nnyini nnyanja ey'ekisa, n'asaba ekusonyiyibwa okuva mu Ggulu ly'obugobi bwe, ayatule nti:
Ayi Katonda wange, Ayi Katonda wange!  Nkwegayirira kulw'omusaayi gw'abagalwa Bo, abesigwa, abo abasanyusibwa ennyo, ebigambo Byo, olwo ne beyunira ku ntiko y'ekitiibwa Kyo, mu kifo ky'obujulizi obusingira ddala ekitiibwa, era nkwegayirira kulw'ebyewunyo ebikwekeddwa mu magezi Go ag'omuwendo agali mu nnyanja ey'ekisa Kyo onsonyiwe ebyonoono byange, osonyiwe ne kitange wange ne mange.  Mw'abo abalaga ekisa, Mu mazima Ggwe osingira ddala ekisa.  Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Asonyiwa bulijjo, Asingira ddala ekisa.  
Ayi Mukama! Ggwe olabira ddala omwonoonyi ono nga akyukidde eri ennyanja y'ekisa Kyo, era omunafu ono nga anoonya Obwakabaka bw'amaanyi g'obutukuvu Bwo, era omunkuseere ono nga anuuka okutunuulira omusana gw'obugagga Bwo.  Kulw'ekisa Kyo n'omukisa Gwo, tomusubya mukisa Gwo Ayi Mukama, wadde okumugaana okutuuka ku kubikkulirwa kw'obulungi Bwo, mu lunaku Lwo, oba okumugoba ku mulyango Gwo, ogwo Ggwe gw'oggudde, eri abo ababeera mu Ggulu Lyo ne Kunsi Yo.
Woowe! Woowe! Ebibi byange bingaanye okutuuka mu mbuga ey'obutukuvu Bwo, era ebyonono byange bimbuziza ne ngenda wala okuva ku weema ey'obwakabaka Bwo.  Nkoze ekyo Ggwe kye wangaana okukola, era, ne nteeka ku bbali, ekyo Ggwe kye wandagira okutuukiriza.  
Nkusaba kulw'Oyo Mukama ow'Amannya gonna, ompandikire n'akafumo ak'omukisa Gwo, ekyo ekinanyamba okutuuka okumpi Nawe, era n'okunkokoolamu ebyonoono byange, ebyekiika wakati wange n'okusaalira Kwo n'okusonyiwa Kwo.
Ddala ddala, Ggwe oti wa maanyi, Omugabi.  Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza byonna, ow'ekisa.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OKUSONYIYIBWA (#6243)

Ettendo libe gyoli Ayi Mukama!  Otusonyiwe ebibi byaffe.  Otukwatirwe ekisa, era otusobozese okudda gyoli.  Tuyambe obutesigama ku mulala Yenna wabula Ggwe.  Era otuyiweko, nga oyita mu mukisa Gwo, ekyo Ggwe kyoyagala era Ggwe kyosiima, ekyo kyennyini, ekikusaanira.  Ogulumize ekifo kyabo abakukiririzaamu, era obasonyiwe kulw'ekisa eky'obusaasizi Bwo.
Ddala ddala, Ggwe Muyambi mukabi, Eyemalirira.

-The Báb
-----------------------

OKUSONYIYIBWA (#6244)

Ayi Katonda wange, Ayi Mukamawange!  Nkusaba onsonyiwe olw'okunoonya essanyu eddala n'esinoonya kwagala Kwo.  Ne noonya okubeera obulungi, ne nesubya okubeera okumpi Nawe, ne noonya essanyu eritali eryo Ggwe lyoyagala, ne noonya embeera endala mu kifo ky'okusembera gyoti.

-The Báb
-----------------------

OKUSONYIYIBWA (#6245)

Ayi Ggwe Mukama asonyiwa! Ggwe kiddukiro ky'abaddu Bo bano bonna.  Ggwe omanyi ebyama era Ggwe otegeera byonna.  Ffe tetwesobola, era Ggwe Owoobuyinza, Owaamaanyi-gonna.  Ffenna tuli boonoonyi, era Ggwe Asonyiwa ebibi, Omusaasizi, Alumirirwa.  Ayi Mukama!  Oleme okutunuulira obunafu bwaffe.  Ebyonoono byaffe bingi, naye ssemayanja w'okusonyiwa Kwo, teriiko kkomo.  Obunafu bwaffe butuyinze, naye obubonero bw’okubeerwa Kwo n'obuyambi Bwo bweraga lwatu.  Noolwekyo otukakase era otunyweze.  Otusobozese okukola ebyo ebisaanidde Omufuubeeto Gwo omukutuvu.  Omulise emitima gyaffe, otuwe amaaso agekkaanya n'amatu agawuliriza.  Abafu obazze engulu n’abalwadde obawonye.  Abaavu obawe obugagga n’abo abali mu kutya obawe emirembe n’obukuumi.  Otukkirize mu bwakabaka Bwo era otumulisize n'ekitangaala eky'okuluŋŋamizibwa.  Ggwe Owaamaanyi era Omuyinza wa byonna.  Ggwe Omugabi.  Ggwe Omusaasizi.  Ggwe Oweekisa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

