OKUBEERWA (#6219)

Ayi Katonda wange!  Nkusaba, ku lw'erinnya Lyo erisingira ddala ekitiibwa, ombeere mu ebyo ebinaayamba emirimu gy'abaddu Bo okukulaakulana, era n'ebibuga Byo okutinta.  Mu mazima  ddala, Ggwe Olina obuyinza ku bintu byonna.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OKUBEERWA (#6220)

Waliwo Omujjuluzi w’ebizibu yenna okuggyako Katonda?  Yatula: Katonda atenderezebwe!  Ye ye Katonda!  Bonna baddu Be, era bonna bagondera okulagira Kwe!

-The Báb
-----------------------

OKUBEERWA (#6221)

Yatula: Katonda amala mu buli kimu okusinga ebintu byonna, era tewali kintu kyonna mu bwengula ne ku nsi ekigasa okuggyako Katonda.  Ddaladdala, Ye mu Ye Mwene ye Mumanyi-yekka, Atubeezaawo, Omuyinza-wa-byonna.

-The Báb
-----------------------

OKUBEERWA (#6222)

Mukama!  Tuli abanyoomebwa, otuwe ekisa Kyo; tuli baavu, otuwe omugabo okuva ku ssemayanja w'obugagga Bwo; abali mu bwetaavu, otuwe bye twetaaga; abajolongwa, otuwe ekitiibwa Kyo.  Ebinyonyi eby'omu bbanga n'ensolo ez'omu ttale, zifuna emmere yaazo buli lunaku okuva eri Ggwe, era n’ebiramu byonna bigabana ku bulabirizi Bwo n'ekisa ky'okwagala Kwo.  

Omunafu ono tomumma kisa Kyo ekyekitalo era n’obuyinza Bwo owe kateeyamba ono omukisa Gwo.
Otuwe emmere yaffe eya buli lunaku, era okkirize okutwongera obusobozi bw’okufuna ebyetaago by’obulamu, bwetutyo tulyoke tuleme okwesigama ku mulala yenna wabula Ggwe, tunyumyenga Naawe mu bujjuvu, tusobole okutambulira mu makubo Go n’okulangirira ebikusike Byo.  Ggwe Ayinza-byonna era Atwagala era Omugabirizi w'abantu bonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OKUBEERWA (#6223)

Ayi Mukama, Katonda wange!  Oyambe abagaalwa Bo okunywerera mu Nzikiriza Yo; batambulire mu makubo Go; baleme okusagaasagana mu Nzikiriza Yo.  Obawe ekisa Kyo basobole okulwanyisa obulumbaganyi bw’omulabe obw’okwerowoozaako n’okwegomba okubi,  bagoberere ekitangaala eky’Okuluŋŋamizibwa Okutukuvu.  Ggwe  Owaamanyi, Oweekisa, Eyeebeezaawo, Omugabi, Omusaasizi, Ayinza-byonna, Agabirira-byonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

