OBUKUUMI (#6270)

Erinnya Lyo litenderezebwe, Ayi Mukama Katonda wange!  Nkwegayirira Ggwe ku lw’Erinnya Lyo nga Essaawa mw’etuukidde, era n’Okuzuukira mwe kwabeererawo, era okutya n’okukankana mwe kwazingiza abo bonna abali mu ggulu na bonna abali ku nsi, otonnyese, okuva mu ggulu ly’okusaasira Kwo ne mu bire by’okulumirirwa Kwo okwekitalo, ebyo ebinaasanyusa emitima gy’abaddu Bo, abakyuse okudda eri Ggwe era ne bayamba Enzikiriza Yo.
Okuume bulungi abaddu Bo n’abazaana Bo, Ayi Mukama wange, bawone obusaale bw’ebirowoozo by’obutaliimu n’okwerowoozaako, era obawe okuva mu ngalo z’ekisa Kyo omumiro gw’amazzi agakulukuta empola ag’amagezi Go.
	Mu mazima, Ggwe Ayinza-byonna, Asingira ddala Okugulumizibwa, Asonyiwa-bulijjo, Asingira ddala Obugabi.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OBUKUUMI (#6272)

Ye ye Katonda!  Ayi Mukama Katonda wange!  Ayi Ggwe Omuyambi w’abanafu, Omubeezi w’abanaku era Omununuzi w’abatalina mwasirizi abakyukira Ggwe.
Mu bwetoowaze obusingira ddala nnyimusa emikono gyange mu kwegayirira eri obwakabaka Bwo obulungi era n’olulimi lwange olwomunda, nga njatula nti: Ayi Katonda, Katonda wange! Ombeere okukusuuta Ggwe, onyweze ekimyu kyange nsobole okukuweereza Ggwe; ombeere ku lw’ekisa Kyo mu buddu bwange eri Ggwe; onsobozese obutasagaasagana mu kukugondera Ggwe; ombunduguleko emikisa Gyo emingi, okkirize okusuuliza kw’eriiso ly’ekisa ky’okwagala Kwo kwolekere eri nze, era onyinnyike mu ssemayanja y’okusonyibwa Kwo. Okkirize nsobole okukakasibwa mu kunywerera ku Nzikiriza Yo, era ompe ekigero kyange mu bungi obusingako eky’obukakafu n’obuvumu, bwentyo nsobole okuviira ddala ku by’ensi, era nga neeweereddeyo ddala nsobole okukyusa obwanga bwange bwolekere amaaso Go ag'okwagala n'ekisa, gantunuulire, era onnyinyike mu ssemayanja y'okusonyiwa Kwo.  Nnyamba okunywera mu Nzikiriza yo.  Era ompe ekigera ekijjuvu. Ekitabuusibwabuusibwa Onkakase neggye ku by'ensi era ebirowoozo byange byonna mbimalire ku Ggwe, nnywezebwe amaanyi ageekitalo ag’obukakafu n’obujulizi, era, nga nzijuziddwa ekitiibwa n’obuyinza, ndyoke mbuuke ensalo eza buli kitundu ky’eggulu n’ensi.  Ddaladdala, Ggwe Omusaasizi, Oweekitiibwa, Oweekisa, Alumirirwa.
Ayi Mukama!  Bano be bamulekwa baabajulizi, ekibiina ky’abantu abo abaaweebwa omukisa.  Bagumidde buli kibonoobono era ne boolesa obugumiikiriza mu mbeera y’obutali bwenkanya obususse.  Baleseewo obulamu obulungi n’obugagga, beewaddeyo, nga beeyagalidde, mu kubonaabona okungi n’obuyinike mu kkubo ly’okwagala Kwo, era bakyakuumiddwa mu buwambe mu njala z’abalabe baabwe abababonyaabonya obutakoma n’ebibonoobono ebikakali, n’okubanyigiriza kubanga batambula nga bavumu mu kkubo Lyo eggolokofu.  Teri n’omu abayamba, wadde n’omu okubakwana.  Nga oggyeko abakopi n’ababi, teri n’omu akolagana wadde okubeera nabo.
Ayi Mukama!  Abantu bano bamaze okulega ku bulumi obungi mu bulamu buno obw’ensi era, nga akabonero ak’okwagalwa kwabwe eri okwakaayakana kw’obubalagavu bw’amaaso Go era ne mu kwesunga kwabwe okutuuka mu bwakabaka Bwo obw’omu ggulu, bagumiikirizza buli kujoogebwa okwennyinyalwa ba nnaakyemalira Kwe babatuusizzaako.
Ayi Mukama!  Ojjuze amatu gaabwe n’ennyiriri z’okubeerwa okutukuvu era n’obuwanguzi obwamangu, era obanunule okuva mu kunyigirizibwa kw’abo abakozesa obuyinza mu bukambwe.  Okugire emikono gy’ababi era oleme okuleka abantu bano okutaagulwataagulwa enjala n’amannyo g’ensolo enkambwe, kubanga basibiddwa okwagala kwabwe eri Ggwe, ne bakwasibwa obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebyama ebikusike ebyobutukuvu Bwo, okuyimirira n’obuwombeefu ku mulyango Gwo era ne batuuka mu mbuga Yo egulumizibwa.
Ayi Mukama!  Ku lwekisa obanyweze n’omwoyo omuggya; omulise amaaso gaabwe nga obasobozesa okulaba obubonero Bwo obw’ekitalo mu kibululu eky’ekiro; obagerekere ebirungi byonna ebisaasaanidde mu bwakabaka Bwo obw’ebyama ebikusike ebyolubeerera; obafuule emmunyeenye entwakaavu ezaakaayakana waggulu w’ebitundu, nga emiti emigimu egijjudde ebibala era egyenyeenyeza mu mpewo ezookumaliiri.
Ddaladdala, Ggwe Mugabirizi, Owoobuyinza, Owaamaanyi-gonna, Atakugirwa.  Teri Katonda mulala okuggyako Ggwe, Katonda ow’okwagala n’obusaasizi obungi, Oweekitiibwa-kyonna, Asonyiwa-Bulijjo.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OBUKUUMI (#6273)

Ayi Katonda, Katonda wange!  Siikiriza abaddu bo eri ebibi by’okwelowoozaako n'okwegomba, obakuume n'eriiso eritatemya ery'okwagala kw’ekisa Kyo baleme okubeera n’ettima, obukyayi n'obuggya, obabudamye mu bbugwe atamenyebwa ow’okulabirirwa Kwo era, obataase baleme okukubibwa obusaale obw'okubuusabuusa, obafuule okwolesebwa kw’obubonero Bwo obw'ekitiibwa, oyakaayakanye obwenyi bwabwe n'ekitangaala ekiva ku Njuba y'obumu Bwo obutukuvu, osanyuse emitima gyabwe n'ennyiriri ezibikkuddwa okuva mu bwakabaka obutukuvu, onyweze ebimyu byabwe n'amaanyi Go agayuuguumya-byonna agava mu bwakabaka Bwo obwekitiibwa. 
	Ggwe Oli Mugabirizi-wa-byonna, Omukuumi, Ayinza-byonna, Oweekisa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OBUKUUMI (#6274)

Ye y’Alumirirwa, Omugabirizi-wa-byonna!  Ayi Katonda, Katonda wange!  Ggwe ondaba, Ggwe ommanyi; Ggwe Kiddukiro kyange era Obubudamo bwange.
Teri n'omu gwe nnoonyezza wadde gwe naanoonya wabula Ggwe; teri kkubo  lyonna lye nnali ntambuliddemu wadde lye naatambuliramu okuggyako ekkubo ery'okwagala Kwo.  Mu kazigizigi w’ekiro ky'okuggwaamu essuubi, eriiso lyange likyukira mu kusuubira era nga lijjudde essuubi ly’olunaku olupya olw’emikisa Gyo egitakoma era ku ssaawa eyamaliiri omwoyo gwange ogukooye guzziddwamu amaanyi mu kujjukira obubalagavu Bwo n'obutuukirivu Bwo.  Oyo abeerwa ekisa ky’okusaasirwa Kwo, newaakubadde yenkana ettondo, alifuuka ssemayanja atalina kkomo, era n’akaweke obuweka akasirikitu akayambibwa ensulo z’ekisa ky'okwagala Kwo, kanaayakaayakana nga emmunyenye entwakaavu.
Obudamye wansi w’obukuumi Bwo, Ayi Ggwe Omwoyo gw’obutukuvu, Ggwe Omugabi w'Emikisa-gyonna, omuddu Wo ono gw’owambye era gw’okoleezezzakko omuliro.  Omubeere mu nsi eno ey'obulamu aleme okusagaasagana era omunywevu mu kwagala Kwo era okkirize ekinyonyi kino ekimenyese ekiwaawaatiro okutuuka mu bubudamo n'obuddukiro mu kisu Kyo ekitukuvu ekiri ku muti ogw’omu ggulu.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OBUKUUMI (#6271)

Ayi Ggwe Lugaba omutukuvu, tuli banaku, otuwe obuyambi Bwo; emmomboze, otuwe obubudamo Bwo; tusaasaanyiziddwa, otukuŋŋaanye wamu mu kisibo Kyo; tetulina kantu konna, otuwe Ggwe omugabo n’omutemwa; tuli bayonta, otukulembere tutuuke ku nsulo z’omugga ogw’Obulamu; tuli banafu, otuwe amaanyi bwetutyo tusobole okugolokoka okuyamba Enzikiriza Yo era n’okwewaayo tweweeyo nga ssaddaka ennamu mu kkubo ly’okuluŋŋamizibwa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

