NKUGAANA (#6259)

Ayi Katonda!  Ddala ddala tukunganidde wano mu kawoowo k'okwagala Kwo.  Tukyukidde eri obwa Kabaka Bwo.  Tewali kirala kyetunoonya, wabula Ggwe, era tetwetaaga kirala kyonna wabula obulungi Bwo.  Ofuule emmere eno okuba maanu ava mu ggulu, era oyambe abantu bano abakungaanye, okuba nga abagalwa Bo abomu ggulu.  Bafuule ensibuko y'okwagala Kwo, eri oluse lw'abantu.  Bafuule emikutu gyoyitamu okulungamya ensi.  Ddala ddala Ggwe Oli wamaanyi, Ggwe Oli mugabi, Ggwe Olimusonyi, Ggwe Ayinza byonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

NKUGAANA (#6258)

Ayi Mukama!  Onyweze era oyambe olukuŋŋaana luno.  Onyweze emyoyo gino nga oyita mu mpewo z’Omwoyo Gwo Omutukuvu.  Ozigule amaaso n’okwolesebwa kw’emimuli egyakaayakana, era osanyuse amatu nga oyita mu nnyimba z’okukoowoola eri obuweereza.
Ayi Katonda!  Ddaladdala, tukuŋŋaanidde wano mu kawoowo k’okwagala Kwo.  Tukyukidde eri Obwakabaka Bwo.  Tetunoonya kirala wabula Ggwe era tetulina kye twegomba wabula obulungi bw’okusiima Kwo.
Ayi Katonda!  Okkirize emmere eno ebeere emmaanu eva mu ggulu, era okkirize olukuŋŋaana luno lubeere eggye ly’abatukuvu Bo ab’oku ntikko.  Obayambe babeere ensibuko y’okuzuukizibwa kw’okwagala eri abantu bonna era ensibuko y’ekitangaala eri olulyo lw’abantu.  Obayambe babeere emikutu gy’okuluŋŋamizibwa ku nsi.
	Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi.  Ggwe Lugaba.  Ggwe Asonyiwa, era Ggwe Ayinza-byonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

NKUGAANA (#6260)

Ayi Omukuumi Omutukuvu!  Olukuŋŋaana luno lwetabyemu mikwano Gyo abasikirizibwa obubalagavu Bwo era abakoleezeddwako omuliro gw’okwagala Kwo.  Ofuule abantu bano bamalayika abatukuvu, obazze engulu nga obafuuwamu omukka ogw’Omwoyo Gwo Omutukuvu, obawe ennimi ezisendasenda n’emitima emigumu, obawe amaanyi amatukuvu n’okufaayo okw’obusaasizi, obasobozese okufuuka abalangirizi b’obumu bw’abantu bonna era ensibuko y’okwagala n’okusseekimu mu nsi y’abantu, bwekityo ekizikiza ekyakabi eky’okwekubiira kw’obutamanya kiryoke kibulire mu kitangaala ky’Enjuba y’Amazima, ensi eno ey’ekibululu eryoke eyakaayakane, ensi eno eyomubiri eryoke enyuunyunte ekitangaala ky’ensi y’omwoyo, langi zino ezenjawulo zisobole okwegatta awamu mu langi emu era n’oluyimba lw’okutendereza lusobole okulinnyalinnya lutuuke mu bwakabaka bw’obutuukirivu Bwo.
	Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi-gonna, era Ayinza-byonna!

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

