ABAZADDE (#6266)

Alina omukisa oyo, ajjukira bazadde be, bw’aba nga asaba Katonda we.

Ggwe olaba, Ayi Mukama, emikono gyaffe nga tugiyimusizza mu kwegayirira okwolekera eggulu ly'okusaasira n'emikisa Gyo.  Kale nno okkirize gijjuzibwe ebyobugagga bwekisa ky’obugabirizi Bwo obulungi.  Otusonyiwe, ne ba kitaffe, ne ba nnyaffe, era otuukirize ebyo byonna bye twegombye okuva mu ssemayanja w'okusaasira n'ekisa Kyo.  Okkirize, Ayi Omwagalwa w'emitima gyaffe, emirimu gyaffe gyonna mu kkubo Lyo.  Ddaladdala, Ggwe Asingira ddala Obuyinza, Asingira ddala Okugulumizibwa, Atageraageranyizika, Omu Yekka, Asonyiwa, Oweekisa.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

ABAZADDE (#6267)

Ayi Mukama!  Mu Mulembe guno Ogusingira Ddala Gyonna Ggwe okkirizza abaana abato okwegayirira ku lw’abakadde baabwe.  Kino kye kimu ku birabo ebyenjawulo ebitaggwaawo eby’Omulembe guno.  Noolwekyo, Ayi Ggwe Mukama ow’ekisa, okkirize okusaba kw’omuddu wo ono ali ku mufuubeeto gw’obumu Bwo era onnyike kitaawe mu ssemayanja w’ekisa Kyo, kubanga omwana ono owoobulenzi agolokose okuweereza era akola obutaweera ebiseera byonna mu kkubo ly’okwagala Kwo.  Ddaladdala, Ggwe Mugabi, Asonyiwa era Oweekisa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

